Poliisi mu disitulikiti y’e Kakumiro ekutte abantu babiri (2) lwa kwefuula abasirikale mu ggye lya UPDF ne baggya ku bantu ssente.

Abakwate kuliko Wilbrod Aijuka ne Willy Soka nga bonna myaka 20 nga batuuze ku kyalo Kaikara mu ggombolola y’e Matale mu disitulikiti y’e Kibaale.

Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu bitundu bya Albertine Julius Hakiza, akawungeezi k’olunnaku olwa Ssande, Soka ne munne baalumba abatuuze ab’enjawulo mu maka gaabwe omuli Olive Katusabe ne bamugyako ssente shs 20,000/=, Francis Tumushabe shs 14,000/= nga beefudde abateeka mu nkola essaawa za Kafyu.

Hakiza era agambye nti abakwate, baludde nga baggya ku bantu ssente ssaako n’okubatimpula emiggo nga beefudde abakuuma ddembe era baasangiddwa n’ekyambalo ky’amaggye.

Mu kiseera kino abakwate bali ku kitebe kya Poliisi e Kakumiro ku misango gy’obubbi n’okusangibwa n’ebintu bya Gavumenti mu ngeri emenya amateeka.