Poliisi eri mu kunoonya omuntu ali mu kusasaanya amawulire ag’obulimba nti omu ku balwadde ba ‘Corona Virus’ mu Uganda yafudde.

Mu kwogerako eri bannamawulire ku Media center mu Kampala enkya ya leero, omwogezi wa Poliisi mu ggwanga Fred Enanga, agambye nti omuntu ali mu kunoonyezebwa, yasobodde okweyambisa emitimbagano gya yintanenti, okusasaanya amawulire ag’obulimba, ekimalamu bannansi amaanyi ssaako n’abasawo abali ku ddimu ly’okujanjaba.

Enanga agamba nti omuntu anoonyezebwa, Poliisi esobodde okumutegeera era okumunoonya akwatibwe kutandikiddewo.

Mungeri y’emu agambye nti singa akwatibwa, wakutwalibwa mu kkooti nga tewali kumuttira ku liiso.

Uganda mu kiseera kino erina abalwadde 53 era okusinzira ku Minisita w’ebyobulamu Dr. Jane Ruth Aceng abalwadde bonna bali mu mbeera nungi.