Kyaddaki omuyimbi Rema Namakula akirizza eyali bba Eddy Kenzo okuddamu ku mwana we oluvanyuma lwe bbanga nga tamulabako.
Rema yayawukana ne Kenzo mu butongole omwaka oguwedde ogwa 2019 mu October, ate nga 21, November, 2019, Rema yayanjula omusajja omulala Dr. Hamzah Ssebunya mu bazadde e Nabbingo ku lwe Masaka.

Rema bwe yali agenda, yatwala omwana we ne Kenzo, Aamaal Musuuza mu bufumbo bwa Dr. Ssebunya era okuva omwaka oguwedde, Kenzo abadde alajjana okulaba ku mwana we.
Sabiti eno, Kenzo bwe yabadde ng’ali mu ddwaaliro mu ggwanga erya Ivory Coast ng’atawanyizibwa ekirwadde kya Alusa, yagambye nti okulaba ku mwana we, kimwongera essannyu n’okumuzaamu amaanyi.

Yabyogedde oluvanyuma lw’okufuna omukisa okwogerako n’omwana we omukulu Maya Musuuza ng’ali mu ddwaaliro.
N’olunnaku olwaleero, Rema azzeemu okuwa Kenzo omukisa okulaba ku mwana we ku mukutu ogwa Instagram.

Rema alaze nti wadde simwetegefu kutwalira Kenzo mwana kumulabako wadde okuwuliziganya, amuwadde omukisa okumulabako ku Instagram.
Ku mikutu gya Rema gyonna, abadde aludde okuteekayo ekifaananyi kya muwala we Aamaal nga ne Kenzo talina mukisa gwonna kumulabako okutuusa olunnaku olwaleero lw’azzeemu okumulabako.