Ssaabasajja Kabaka Empologoma ya Buganda Ronald Muwenda Mutebi II asiimye abantu 5 abakoze ebintu ebyenjawulo okuzza Buganda ku ntikko ne ggwanga Uganda okutwaliza awamu.
Kabaka olunnaku olwaleero ajjaguza amazaalibwa ge ag’emyaka 65 mu kiseera nga eggwanga likyali mu Kalantini ne Kafyu olwa ‘Corona Virus’ era emikolo tegiriiwo.
Wabula mu kwogerako eri Obuganda ku Bulange e Mmengo enkya ya leero, Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga abikudde ekyama nti Kabaka asiimye abantu ku mazaalibwa g’olunnaku olwaleero.

Katikkiro Mayiga agambye nti, “Kabaka yasiimye okuwa abantu be 5 abakoze obulungi era ajja bawa ejjinja ery’enjawulo”.
Abasiimiddwa kuliko munna Democratic Party (DP) Dr Paul Kawanga Ssemogerere olw’ebintu ebingi by’akoledde eggwanga lyaffe, Sheikh Rajab Kakooza olw’omulimu omulungi mu ddiini y’ekiyisiraamu, Rev Samuel Kasujja eyabatiza Kabaka mu ssaza e Ggomba ate n’omulimu gw’akoze.
Abalala ye John Jones Yakuze, munamawulire akoze ennyo ne Prof Josephine Nambooze Kiggundu omusawo eyasooka mu Uganda olw’emirimu emirungi gy’akoze omuli n’okutendeka abasawo mu Uganda ne East Africa.
Katikkiro Mayiga asuubiza okutekateeka omukolo ogw’enjawulo, abasiimiddwa okufuna amayinja gaabwe.