Poliisi y’e Kiira atandiise okunoonyereza ku ngeri omusajja John Kabugudu myaka 25 gye yattiddwa, akawungeezi k’olunnaku olw’eggulo ku Ssande.

Kabugudu yattiddwa muganda we Yowanah Mwase, bwe yamufumise ekintu mu lubuto ku kyalo Kadiba mu Tawuni Kanso Buwenge mu disitulikiti y’e Jinja.

Okusinzira ku batuuze, Kabugudu yayittiddwa okutaasa okulwanagana wakati wa muganda we ne muganzi we atamanyikiddwa kyokka yabadde yakayingira mu nnyumba ne bamutunga ekiso mu lubuto ku ssaawa nga 2 ez’ekiro.

Kabugudu yakutukidde mu ngalo z’abatuuze nga bamutwala mu ddwaaliro kyokka muganda we ssaako ne Muganzi we mu kiseera kino baliira ku nsiko.

Lameka Baita omu ku batuuze agamba nti Kabugudu yafumitiddwa ekiso mu lubuto era avumiridde ekya bantu okutwalira amateeka mu ngalo.

Henry Mugarura addumira Poliisi mu bitundu bye Jinja North agambye nti Mwase anoonyezebwa ku misango gy’obutemu ne muganzi we era agumizza abatuuze okusigala nga bakakamu.