Omuwala Tanasha Donna alaze nti mu bulamu bwe yakoowa omuyimbi Diamond Platnumz eyali bba oluvanyuma lw’okumuzaalira omwana.
Tanasha yadda mu bigere bya Zari Hassan mu 2018 oluvanyuma lw’okwawukana ne Platnumz.
Wabula ku ntandikwa y’omwaka guno ogwa 2020, Tanasha yasuulawo Platnumz kubigambibwa nti yali asukkiridde obwenzi nga takyamuwa budde.

Wabula Tanasha bwe yabadde awayamu ne munnamawulire mu ggwanga erya Kenya ku nsonga za laavu, yagambye nti yakoowa Platnumz mu bulamu bwe.
Agamba nti Platnumz yamusembeza mu bulamu bwe kuba yali amwesize nnyo kyokka kyamwewunyisa omusajja okukyuka oluvanyuma lw’okuzaala.
Tanasha agamba nti mu bulamu bwe yejjusa olunnaku lwe yasisinkana Platnumz kuba yali we wikendi era yejjusa nnyo lwaki yamuwa ennamba y’essimu ye.
Mungeri y’emu agambye nti olwa Platnumz, yalekulira n’omulimu gwe mu ggwanga erya Kenya okugenda mu ggwanga erya Tanzania mu bufumbo kyokka yejjusa lwaki yagwa mu laavu Platnumz gw’agamba nti mufere mu mukwano.
Mu kiseera kino Platnumz ne muyimbi yekka mu East Africa amanyikiddwa okuba n’abaana mu mawanga asatu omuli Uganda, Tanzania ne Kenya.