Kyaddaki sipiika wa Palamenti Rebecca Alitwala Kadaga avuddeyo ku nsonga za bannayuganda abalina okwemulugunya ku kitongole ekiterekera abakozi ensimbi zaabwe ez’obukadde, ekya NSSF.

Mu kiseera kino, olw’embeera ya Kolona, abamu ku bakozi abatereka ssente z’obukadde ne NSSF, bagamba nti kekaseera okufuna ku ssente zaabwe okubayamba kuba tebakyakola nga bangi boolekedde okufiira mu nju olw’enjala.

Wabula ne sipiika Kadaga, agamba nti afunye okwemulugunya ng’abantu basaba, Sseemateeka okukyusibwamu, abakozi okufuna ku ssente zaabwe nga tebanaweza myaka 50 nga bakyalina endasi, okubaako kye bazikolamu.

Kadaga agamba nti olwa Kolona, ng’abantu tebakyakola olwa Kalantini, bannayuganda bawadde ensonga ez’enjawulo nti bakooye okufa nga tebalidde ku ssente zaabwe zebatuyanidde.

Ng’ayita ku mukutu ogwa ‘Twitter’, Kadaga asuubiza nti Palamenti egenda kuyingira mu nsonga eyo mu bwangu okugitesaako.