Abantu 4 basiibuddwa mu ddwaaliro ekkulu e Mulago oluvanyuma lw’okuwoma ekirwadde ki Covid-19, ekisasanyizibwa akawuka ka Corona virus.

Uganda mu kiseera kino, ewezeza abantu 12 abasiibuddwa nga bakebeddwa, nga tebakyalina Kolona.

Abasooka, okusiibulwa baali balwadde mu ddwaaliro Entebbe.

Okusinzira ku mawulire 100.2 Galaxy FM geefunye, olunnaku olw’enkya ku Lwokuna, abantu 6 abalala bageenda kusiibulwa nga bakebeddwa omulundi Ogwokubiri akawungeezi ka leero, nga tebakyalina bulwadde.

Bonna abasiibuddwa, abasawo bagaanye okwatuukiriza amannya gaabwe wadde okulaga ffeesi zaabwe olw’okutya nti bayinza okubasosola nga batuuse ku byalo, ng’abantu batya okubasemberera.

Uganda yakafuna abalwadde 55, nga 12 basiibuddwa.

Wabula ku ddwaaliro ekkulu e Mulago, abasawo bakubye ettendo okwebaza Omutonzi okubasobozesa okujanjaba abalwadde ba Kolona.

Vidiyo