Poliisi ekutte abaana babiri (2) ku by’okutta kitaabwe Aron Balikeka mu kiro, ekikeseza olwaleero.

Abaana abakwattiddwa kuliko Warren Tumwesige ne Alex Mugisha nga bonna batuuze ku kyalo Kasozi mu ggombolola y’e Kyangwali mu disitulikiti y’e Kikuube.

Okusinzira ku batuuze, abaana baakutte ejjambiya ne batematema kitaabwe nga bamulumiriza okugaana okubagabira ku ttaka.

Omulambo gusangiddwa mu kitaba kya musaayi era yatemeddwa ku mutwe, ffeesi, emikono n’omugongo.

Omwogezi wa Poliisi mu bitundu bye Albertine Julius Hakiza, agambye nti Poliisi weyatuukidde nga ssemaka amaze okufa era abaana abakwattiddwa, baludde nga balumiriza kitaabwe okulemwa okubongera ku ttaka.

Abaana baguddwako emisango gy’obutemu era essaawa yonna, bakutwalibwa mu kkooti.