Kyaddaki Poliisi efulumizza alipoota ku butabanguko mu maka oluvanyuma lw’abantu okubasibira awaka ng’emu ku ngeri y’okutangira Kolona okusasaana.
Okusinzira kw’amyuka omwogezi wa Poliisi mu ggwanga Polly Namaye, bukya bannayuganda basindikibwa mu Kalantini, mu nnaku 15 zokka, bafunye emisango 328 egy’o butabanguko mu maka.

Mu kwogerako eri bannamawulire ku Media centre mu Kampala enkya ya leero, Namaye agambye nti emisango mulimu egy’okutta abaana n’okubatulugunya omuli n’abakyala, abaana okubula, okukozesa abaana abato, okulwanagana okulimu n’okuyiwa omusaayi.
Namaye alabudde abantu okweddako mu kulwanyisa butabanguko mu maka.
Mungeri y’emu Poliisi etaddewo ennamba z’essimu 0779999999 abantu okubategeeza singa bafuna obutabanguko mu maka mu ggwanga lyonna.