Abantu munaana (8) abalala basiibuddwa mu ddwaaliro nga bawonye Covid-19, ekiwadde abasawo essannyu n’essuubi abali ku ddimu ly’okujanjaba abalina Kolona mu Uganda.

Ku basiibuddwa, kuliko abakyala 4 n’abasajja 4 kyokka omu ku bakyala abadde mu ddwaaliro ekkulu e Hoima nga yava mu kibuga Dubai.

Uganda ewezezza abantu 20 abakasiibulwa nga bawonye bulungi Kolona era ku mukolo gubadde ku ddwaaliro e Mulago mu Kampala, Minisita omubeezi ow’ebyobulamu Robinah Nabbanja, agambye nti abasiibuddwa bawonye bulungi era asabye abantu okubaniriza.

Ate abasawo bagamba nti Omutonzi yabasobozesezza okukola obulungi  omulimu gwabwe okutaasa obulamu bw’abantu.

Ku basiibuddwa 20, Emmunuel Safali ali mu gy’obukulu 50 nga mutuuze we Najjanankumbi yasoose okuvaako mu lwatu okwebaza abasawo, okumuwa obujanjabi obulungi era agambye nti embeera gy’abaddemu ku ddwaaliro ekkulu e Mulago esiinga nnyo amalwaliro agamu mu nsi z’ebweru.

Safali bamutwala mu ddwaaliro ekkulu e Mulago nga 28, March, 2020 oluvanyuma lw’okuzuulibwa nga mulwadde kuba yali yakakomawo okuva okuva mu kibuga Dubai.

Mu kiseera kino Uganda erina abalwadde 35  abakyali mu ddwaaliro kyokka abasawo bagamba nti bali mu mbeera nnungi.

Vidiyo