Omubaka wa Mityana Munisipaali, Francis Zaake aliira ku nsiko mu kiseera kino olwa maggye okusalako amakaage okukwattibwa olw’emputtu.
Zaake agamba nti okuwa abantu emmere olwaleero abali mu bwetaavu y’emu ku nsonga lwaki anoonyezebwa.

Kinnajjukirwa nti Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni yategeeza nti bannabyabufuzi balina okukomya okuwa abantu emmere kuba okubakunganya, kiyinza okuvaako Corona Virus okusasaana.
Pulezidenti yasaba abantu bonna abalina emmere oba ekintu kyonna eky’okuyamba abantu, okukitwala mu kakiiko ka Ssabaminisita akatekebwawo okuyamba abantu.
Zaake asobodde okweyambisa omukutu ogwa Face Book okugamba nti, “The tormentors have broken into my home, they are breaking every door of my house searching to arrest me for the crime of sharing food with the starving people. Sad!“.
