Omuyimbi Mukasa Yasin amanyikiddwa nga Lil Pazo alaze nti musajja alumirirwa abantu wadde naye tali bulungi mu by’ensimbi.
Lil Pazo eyayimba ‘Genda ogule emmotoka’ ye muyimbi asoose okuvaayo okuddukirira abantu n’emmere abali mu bwetaavu mu kiseera kino ekya Kalantini ne Kafyu.
Mu kiro ekikeseza olwa leero ku Mmande, Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni bw’abadde asoma amannya g’abantu ne Kampuni eziwaddeyo obuyambi mu kakiiko ka Ssaabaminisita wa Uganda, Dr. Ruhakana Rugunda, Lil Pazo y’omu ku bantu abaawaddeyo.

Ebiwandiiko biraga nti Lil Pazo yawaddeyo kkiro z’akawunga 80, Gavumenti okuddukirira abantu abanoonya eky’okulya.
Mu kiseera kino, Kkiro y’akawunga eri wakati wa shs 2,500 – 3,000, ekitegeeza nti Lil Pazo yasasaanyizza ssente wakati wa shs 200,000 ne 240,000.
Lil Pazo y’ani?
Lil Pazo Alina emyaka 29 ng’era mutabani wa Muky. Sabirina Nakacwa n’omugenzi Sulaiman Ssezibwa ab’e Jongoza mu Kaliisiizo – Masaka.
Agamba pulayimale yagisomera Kabingo Primary School ate siniya n’agenda ku Beteremu Secondary e Rakai gye yakoma mu S3.