Poliisi mu Kampala ekutte abantu 2 ku by’okugingirira sitiika, ezibakiriza okutambula n’emmotoka.
Abakwate kuliko Denis Besigye ne Nasif Luswata nga bakwattiddwa Poliisi n’amaggye mu bitundu bya Kampala eby’enjawulo ku misanvu gy’ebitongole ebikuuma ddembe egiteekeddwa ku nguudo ez’enjawulo.
Patrick Onyango, omwogezi wa Poliisi mu Kampala agambye nti Besigye abadde avuga mmotoka namba UBB 721K ate Luswata abadde avuga UBE 599S.
Onyango agamba nti emmotoka zonna zitwaliddwa ku kitebe kya Poliisi e Naguru ate Besigye ne Luswata baguddwako emisango gy’okugyemera ebiragiro by’omukulembeze w’eggwanga.
Onyango agamba nti okulemesa emmotoka okutambula, kigendereddwamu okutangira Kolona okusasaana wabula si kunyigiriza bantu.