Kyaddaki Poliisi evuddeyo ku nsonga lwaki munnamawulire Samson Kasumba owa NBS yakwattiddwa mu kiro ekikeseza olwa leero ku Lwokubiri.
Webukeeredde enkya ya leero nga Poliisi tennaba kuwa nsonga yonna lwaki Kasumba yakwattiddwa era abadde akyakuumibwa ku poliisi y’e Kira Road.
Wabula omwogezi wa Poliisi mu ggwanga Fred Enanga agambye nti Kasumba yakwattiddwa ku misango gy’enkwe ku nsi ye.
Enanga agamba nti Kasumba okukwattibwa tekyekuusa ku mulimu gwe era bagenda kumutwala okwaza ebifo ebimu, Poliisi byesuubira nti birina akakwate ku musango ogumukwasizza.
Mungeri y’emu Enanga agambye nti Kasumba ne banne abali ku misango gye gimu era bagenda kubayambako mu kunoonyereza kwabwe.