Abakulembeze mu Disitulikiti y’e Kisoro basobeddwa olwa abantu abali mu Kalantini okudda mu kusinda omukwano ate nga bali mu kwekenenyezebwa oba balina ekirwadde kya Kolona.

Okusinzira ku RDC w’ekisoro Captain Peter Mugisha, abantu 19 abaatekebwa ku ssomero lya Kisoro Primary Teachers College bali mu byakwegatta, ekiyinza okuvaako okulwala Kolona oba endwadde ez’obukaba.

RDC Mugisha agamba nti okunoonyereza kulaga nti buli kumakya, mu Kompawundi y’essomero, musangibwamu Kondomu ezikozeseddwa, ekiraga nti okwegatta kweyongedde mu Kalantini.

Mu Kalantini, agambye nti mulimu ba Ddereeva ba Tuleera 4 okuva mu ggwanga erya Kenya abaakwatibwa sabiti ewedde nga bali mu bbaala ne Loogi mu Tawuni Kanso y’e Bunagana, munnansi wa Rwanda omu (1), munnansi wa Congo omu (1) abasigadde bannayuganda, abadda mu kwerigomba buli kiro.

Alabudde abali mu Kalantini nti omuntu yenna anaasangibwa ng’ali mu kaboozi, wakukwatibwa aggulweko emisango emirala.

Wabula Omuwandiisi ow’enkalakkalira mu minisitule y’ebyobulamu, Dr. Diana Atwine asabye abakulembeze b’ekisoro okuvaayo okulwanyisa eky’abantu okunyumizza akaboozi mu Kalantini.