Poliisi eri mu kusamba nsiko okunoonya omwana myaka 27 ku by’okutta kitaawe lwa bbanja lya shs 6, 000.

omwana anoonyezebwa mutuuze ku kyalo Bunakobe mu ggombolola y’e Bumasifwa mu disitulikiti y’e Sironko ku by’okutta kitaawe James Woyaga, 53.

Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu bitundu bya Elgon Rogers Taitika, omwana aliira ku nsiko mu kiseera kino oluvanyuma lw’okutta Woyaga.

Kigambibwa omwana yalwanaganye ne kitaawe Woyaga olw’okubanja ssente ze shs 6,000 nga kitaawe kati omugenzi tazirinaawo.

Obutakaanya wakati w’omwana ne kitaawe bweyongedde era wakati mu kulwanagana, omwana yasambye Woyaga mu lubuto era yaweddemu amaanyi mpola okutuusa lwe yafudde.

Omulambo guli mu ddwaaliro e Mbale era Poliisi etandiise okunoonya omwana ku misango gy’obutemu.