Mu kiseera kino ng’abantu bali mu Kalantini, Ssenga Kawomera alambuludde ebintu eby’enjawulo, ebiyinza okuvaako abakazi okwetamwa akaboozi mu kiseera kino.
Obucaafu. Ssenga Kawomera agamba ni omuvubuka oba omwami bw’aba mucaafu katugambe nga tayagala kunaaba, okusenya n’okweyonja ebitundu by’ekyama, kivaako omukyala okumwenyinyala era kimwetamya okwegatta naye wadde ategeera omukwano.
Situleesi oba ebirowoozo. Omukazi asobola okugaana okwegatta olw’embeera gy’alimu. Okunyumya akaboozi, ebirowoozo birina okubeera ebitebenkevu olwo n’alyoka anyumirwa kyakola era ssinga omukazi abeera n’ebimutawaanya ku mutwe, kyangu okwetamwa akaboozi.
Sitayiro y’omusajja mu Kaboozi. Ssenga Kawomera agamba nti omukazi ayinza okubeera nga ekyamazima yandibadde yeetaaga okwegatta kyokka ng’akakodyo omusajja k’akozesa omukazi takaagala. Kino kimuleetera okwetamwa ebyokwegatta n’omusajja we wadde amwagala nnyo ku mutima.
Ekimunyiiza. Ssenga Kawomera agamba nti omukyala ng’omuntu omulala yenna asobola okufuna ekimunyiiza nga yeetaagamu obudde asobole okudda mu mbeera ze. Ssinga omusajja amukaka nga tayagala kusinda mukwano tekiba kya buntubulamu era ayinza okwetamwa akaboozi.