Sipiika wa Palamenti Rebecca Alitwala Kadaga alidde obuwuka era asindise omubaka we Kyadondo East Robert Kyagulanyi Ssentamu amanyikiddwa nga Bobi Wine mu akakiiko akavunanyizibwa ku mateeka agafuga palamenti, okwewozaako ku bigambo byazze, ayogera ssente obukadde 20 ezabawereddwa, okuyambako mu kulwanyisa Kolona mu bitundu byabwe.
Bobi okusindikibwa mu kakiiko, kidiridde omubaka we Bunyole West James Waluswaka, okumusaba okwewozaako ku bigambibwa nti, yategezezza nti ssente obukadde 20 zabadde za nguzi.
Waluswaka era agamba nti waliwo ka vidiyo akali mu kusasaana ku mitimbagano nga Minisita w’ebyobusuubuzi Amelia Kyambadde asaba munnamawulire okumubuuza ku nsonga ya ssente kuba kigambibwa y’omu ku batono, abasobodde okuzizaayo ne Bobi.
Mu Palamenti, Waluswaka agambye nti Bobi ne Minisita Kyambadde bagwanidde okusindikibwa e Luzira ku misango gy’okugeeza okutta omuntu.
Ku nsonga ezo, sipiika Kadaga kwasinzidde okutabuka olw’okusiiwuka empisa okugenda mu maaso mu Palamenti era amangu ddala Bobi asindikiddwa mu kakiiko k’ebyamateeka mu Palamenti abitebye nga ne Minisita Kyambadde bamunoonyeza eky’okumukolera.
Palamenti yagabanyizza Biriyoni 10 nga buli mubaka yafunye obukadde 20 ku ntandikwa ya sabiti eno, okubayambako mu kulwanyisa Corona Virus mu ggwanga newankubadde waliwo abamu abalemeddeko okuzizaayo.
Bobi ne Minisita Kyambadde balina okwewozaako lwa bigambo, kyokka kinnajjukirwa nti mu 2012 Bebe Cool yafulumya oluyimba olugamba nti ‘AKamwako’, akayinza okuvaako obuzibu.