Abamu ku batuuze mu bitundu bye Nansana balumbye Poliisi y’e Nansana mu disitulikiti y’e Wakiso okubanja Poliisi okuyimbula abantu baabwe abaakwattiddwa mu kiro.
Poliisi efulumizza alipoota ng’eraga nti mu kikwekweeto ekyakulembeddwamu addumira Poliisi mu Kampala n’emirirwano Afande Moses Kafeero, abantu 480 baakwattiddwa mu bitundu omuli omuli Nakulabye, Kasubi, Namungona, Kawempe, Maganjo, Nansana, Masitowa, Lubigi, Kisasi, Kyanja, Mutungo, Banda, Kireka ssaako ne Kinawataka.
Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano Patrick Onyango, abakwate basangiddwa nga batambula mu ssaawa za Kafyu, mu bbaala nga bali mu kunywa, abamu nga baguddewo amaduuka mu ssaawa za Kafyu ssaako n’okutunda enjaga.

Onyango agamba nti Poliisi etandiise okubanoonyerezaako ku misango gy’okutunda ebintu omuli enjaga, okugyemera amateeka ssaako n’obulagajjavu ekiyinza okubasiiga obulwadde.
Wabula abakyala, abaana ssaako n’abakadde bagamba nti okusiba abasajja, boolekedde okufiira mu nnyumba enjala ate ku ky’abakyala abakwattiddwa, abasajja batabukidde Poliisi nga bagamba nti abaana betaaga ba nnyabwe ssaako n’abo ng’abaami, okutwaliriza obudde mu nsonga z’omu kisenge mu ssaawa za Kafyu ssaako ne Kalantini.
Kansala we Nansana Tonny Lutaaya, agamba nti Poliisi esukkiridde okutulugunya bannansi nga n’okukwata abantu okuva mu maka ag’enjawulo ne bateekebwa mu kaduukulu ka Poliisi, kiyinza okutambuza obulwadde.
Luke Owoyesigire, amyuka omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano alabudde ab’enganda z’abantu abattiddwa okusala Puleesa, nga okuyimbula omuntu yenna, balina kwesigama ku mateeka wabula si kuteeka Poliisi nninga.
Eddoboozi ly’abantu