Omubaka wa Pulezidenti e Jinja (RDC) Eric Sakwa asindikiddwa ku Limanda mu kkomera lye Busesa okutuusa nga 13, Omwezi ogujja Ogwokutaano.

Sakwa aguddwako emisango omuli okwonoona ebintu, obubbi ssaako n’okuviirako omuntu okufa bwe yali ateeka mu nkola ebiragiro by’omukulembeze w’eggwanga eby’okutangira Corona Virus okusasaana.

Sakwa akwattiddwa okuva ku Laadiyo emu mu kibuga kye Jinja era bw’asimbiddwa mu maaso g’omulamuzi w’eddaala erisooka e Jinja Anne Komuhangi, takkiriziddwa wadde okubaako kyayogera era aguddwako emisango ne banne okuli Mohammed Simba amanyikiddwa nga Meddie, Bumali Kazibyewa ssaako n’abalala abakyaliira ku nsiko.

Okusinzira ku ludda oluwaabi, wakati wa 22, omwezi oguwedde Ogwokusatu ne 17 omwezi guno Ogwokuna, ku kyalo Lwadda mu disitulikiti y’e Jinja, Sakwa ne banne baavirako Charles Isanga okufa oluvanyuma lw’okumutulugunya ng’ali mu kiyosiki.

Mungeri y’emu baatwala kuleeti 3 eza bbiya, ttule z’amagi 8, Ssooda ssaako n’ebintu ebirala nga bibalibwamu 429,000.

Alipoota y’abasawo eraga nti Isanga yafa olw’okumutulugunya.

Wabula mu kusooka, Poliisi ewaliriziddwa okweyambisa ttiyaggaasi ogumbulula abawagizi ba RDC Sakwa nga bawakanya okumukwata, okumutwala mu kkooti.

Kinnajjukirwa nti ntandikwa y’omwaka guno, RDC Sakwa yagoba munnakibiina kya FDC Dr. Kizza Besigye mu bitundu bye Jinja ng’agaamba nti asukkiridde okutabangula emirembe n’emirimu gy’abantu mu kitundu kye.