Poliisi ekutte Dickson Mugarura omutuuze ku kyalo Luyinja mu zzooni y’e Namungona ku by’okugingirira sitiika z’emmotoka, ezikkiriza abantu okutambula mu kiseera kino ekya Kalantini.

Mugarura okukwattibwa, kidiridde Poliisi ku Jinja Road okukwata ddereeva Julius ng’alina sitiika ku mmotoka enjigirire.

Julius amangu ddala yakulembeddemu abasirikale okubatwala mu maka ga Mugarura eyamuguza sitiika enjigirire.

Poliisi yakutte Mugarura kyokka mu kwekebejja amakaage, mwasangiddwamu sitiika enjigirire 29.

Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano SP Patrick Onyango, Mugarura akuumibwa ku poliisi ya Jinja Road ku misango gy’obufere era essaawa yonna bakumutwala mu kkooti.