Omubaka w’ ekibuga ky’ e Mityana Francis Zaake asabye omulamuzi wa kkooti y’e Nakawa alagire poliisi emuyimbule awatali kakwakulizo konna kubanga amaze essaawa ezisuka mu 48 ng’ali mu kaduukulu ka poliisi ekintu ekimenya amateeka.

Zaake yakwatibwa sabiti ewedde ku Ssande okuva mu makaage ku kyalo Buswabulongo, Mityana ebitongole ebikuuma ddembe okwali Poliisi n’amaggye oluvanyuma lw’okugabira abantu emmere mu konsituwensi ye.

Oluvanyuma lw’okukwattibwa, yaggulwako emisango 3 omuli okugyemera ebiragiro bya Pulezidenti w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni eby’okuyimiriza abantu bonna okugabira abantu emmere kuba kiyinza okusasaanya ekirwadde kya Kolona.

Emisango emirala kuliko okugezaako okutta abantu n’obulagajjavu obuyinza okuvaako okusasaanya obulwadde mu bantu.

Okusinzira ku mawulire okuva ku kkooti e Nakawa, okusaba kwa Zaake kwakuwulirwa olunnaku olw’enkya ku Mmande nga 27, April, 2020 ku ssaawa 5 ez’okumakya.

Olunnaku olw’eggulo ku Lwomukaaga, Omwogezi wa Poliisi mu ggwanga Fred Enanga yategeezezza nti fayiro y’omubaka Zaake yaggwa dda okumutwala mu kkooti kyokka yafuna obulwadde obw’amangu ng’ali mu kaddukulu ka poliisi ne bamutwala mu ddwaaliro lye Naguru ku Lwokuna okufuna obujanjabi.

Enanga agamba nti tebalina kutwala mu kkooti omuntu yenna nga mulwadde, balina okulinda Zaake awone, okumutwala mu kkooti.