Poliisi ekutte omukozi wa 100.2 Galaxy FM DJ Nabeta Nimrod ku misango gy’okugyemera ebiragiro by’omukulembeze w’eggwanga.
DJ Nimrod akwattiddwa ne DJ. Walakira Shafiq mu Divizoni y’e Makindye, Kampala nga bali mukuwa bantu mmere.

Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano SP Patrick Onyango, offisi ya ssabaminisita ewadde DJ. Nimrod emmere okuwa ba DJ banne abali mu bwetaavu mu kiseera kino.
Onyango agamba nti DJ. Nimrod alemereddwa okutwala emmere mu ba DJ era asangiddwa Poliisi ng’ali kuwa bantu mmere nga bakungaanye, ekintu ekiyinza okutambuza obulwadde bwa Kolona.

Onyango agamba nti DJ. Nimrod abadde alina okutwalira ba DJ mmere nga tewali kunganya abantu, ekintu ekimulemye.

Mu kiseera kino bali ku Poliisi y’e Katwe ku misango gy’obulagajjavu, ekiyinza okuvaako okusasaanya Kolona.