Kkooti enkulu mu Kampala ewadde ebiragiro ku ngeri abakise ba Palamenti bonna, gye balina okweyambisa ssente obukadde 20 ezabawereddwa ku ntandikwa ya sabiti ewedde.

Omulamuzi Michael Elubu alagidde ssente okutwalibwa mu kakiiko akalwanyisa Kolona mu ggwanga lyonna oba ku disitulikiti oba okuzizaayo eri Palamenti.

Omulamuzi okusalawo, kidiridde omubaka we Ntungamo Gerald Karuhanga ne Jonathan Odur owe Erute eyamaserengeta, okuddukira mu kkooti nga bawakanya ekya Palamenti okwegabanya Biriyoni 10, nga buli mukiise, alina okufuna obukadde 20 okuyambako mu kulwanyisa Kolona mu bitundu byabwe.

Mu kkooti, Karuhanga ne munne bakikiriddwa munnamateeka waabwe David Mpanga ate Palamenti ekiikiriddwa Sitinah Cherotich era bonna bakaanyiza ssente okweyambisibwa mu ngeri kkooti gy’esazeewo.

Oluvudde mu kkooti, omubaka Karuhanga agambye nti afunye ku ssannyu kuba ssente, omulamuzi alagidde okudda mu mikono emituufu.

Kinnajjukirwa nti ssente, Biriyoni 10, zaali kwezo Biriyoni 304 ezayisibwa Palamenti nga 4, omwezi guno Ogwokuna, okuyambako eggwanga mu kulwanyisa Kolona.

Wabula omulamuzi agenze okuwa ensala ye, ng’abamu ku bakiise ba Palamenti, ssente bazikozeemu ebintu eby’enjawulo omuli okufunira abalonzi emmere omuli akawunga, abamu okuyambako mu kuzimba amalwaliro  mu bitundu byabwe n’engeri endala.

Wabula omubaka we Kyadondo East Robert Kyagulanyi Ssentamu amanyikiddwa nga Bobi Wine alaze lwaki yegwanyiza obwa Pulezidenti bwa Uganda mu kulonda kwa 2021.

Bobi Wine agamba nti ssente obukadde 20 yali nguzi era y’omu ku babaka abasooka okuzaayo ssente zonna obukadde 20 mu Palamenti, ekiraga nti wadde kkooti ewadde ekiragiro, ye awangudde lawundi esooka kuba abadde ssente yazizaayo dda mu Palamenti