Sipiika wa Palamenti omukyala Rebecca Alitwala Kadaga akowodde bannayuganda okuvaayo ku ssente Biriyoni ezisukka 50 ezaaweebwa ofiisi ya Ssabaminisita okunoonya emmere, okuwa abantu mu kiseera kino, abali mu bwetaavu.
Kadaga, agamba nti yewunyizza bannayuganda okwogera ebigambo ebikankana ku ssente Biriyoni 10 ezaagabanyiziddwa eri Palamenti, buli mukiise, okufuna obukadde 20 okuyambako mu kulwanyisa Kolona mu kiseera kino.
Mu kwogerako eri bannamawulire ku Palamenti akawungeezi ka leero, Kadaga anokoddeyo ebitongole eby’enjawulo ebyafuna ensimbi mu kulwanyisa Kolona, nga buli disitulikiti yafuna obukadde 165, Offisi y’omukulembeze w’eggwanga Biriyoni 15, KCCA biriyoni 2 aba RDC obukadde 55 n’ebitongole ebirala kyokka bannayuganda basirise ku bigenda maaso ku ssente ezo.
Kadaga era abikudde ekyama nti ssente ezaweebwa ofiisi ya Ssabaminisita Biriyoni 59, baazigulamu emmere envundu n’amata amafu, okuwa bannayuganda kyokka tewali azogerako.
Sipiika Kadaga era agumizza abakiise ba Palamenti bonna okusigala nga bagumu ku ssente obukadde 20 ezabawereddwa.
Agamba newankubadde kkooti enkulu yawadde ebiragiro ku ngeri y’okusasaanya ssente ezo omuli okuzitwala mu kakiiko akalwanyisa Kolona mu ggwanga lyonna oba ku disitulikiti oba okuzizaayo eri Palamenti, nga n’omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni yavuddeyo ku nsonga zezimu, Kadaga abadde omukambwe agambye nti Palamenti yeetengeredde mu ntambuza y’emirimu era akooye, abantu okugiyingirira.
Agumizza ababaka abafunye obukadde 20, okusigala nga bagumu kuba ensonga zonna, zigenda kolebwako mateeka.