Poliisi ku kyalo Magunga mu disitulikiti y’e Bukwo etandiise okunoonya ssemaka ku misango gy’obutemu oluvanyuma lw’okutta musangi we.
Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu ggwanga Fred Enanga, Ssemaka Timoth Yeko yakomyewo awaka ku ssaawa 3 ez’ekiro kyokka yasangirizza mukyala we ng’ali mu kaboozi n’omusajja omulala Zaakayo Bosco myaka 37.
Enanga agamba nti Yeko yavudde mu mbeera era yatemyetemye Zaakayo nga yeeyambisa ejjambiya omubiri gwonna okutuusa lwe yafudde.
Poliisi egamba nti mu kiseera kino omukyala aliira ku nsiko ne bba Yeko era okusamba ensiko kutandikiddewo mbagirawo okubanoonya bonna bakwattibwe.