Omuwala munnakenya Tanasha Donna Oketch n’okutuusa kati akyejjusa lwaki yaggwa mu mukwano n’omuyimbi Omutanzaniya Diamond Platnumz.
Platnumz oluvanyuma lw’okwawukana ne Zari Hassan eyali amuzaalidde abaana babiri (2), yafuna omukyala omulala Tanasha okuva mu ggwanga erya Kenya.
Mu kiseera nga Platnumz ali mu laavu ne Tanasha, ebintu byali bitambula bulungi nnyo ku ludda lw’omukyala era yamutambuza mu nsi ez’enjawulo.

Wabula kuntandikwa y’omwaka guno ogwa 2020, Tanasha yalangirira nti yali ayawukanye ne bba Platnumz kuba yali asukkiridde obwenzi n’obutamuwa kitiibwa ng’omukyala.
Wabula agava mu ggwanga erya Kenya, galaga nti Tanasha ali mu kwejjusa kuba wadde Platnumz yali amuyambyeko mu kisaawe ky’okuyimba, oluvanyuma lw’okwawukana, agudde mu by’okuyimba kuba takyalina amukwasizaako.
Mu kiseera nga Tanasha ali mu laavu ne Platnumz, ennyimba ze zaali z’amaanyi mu ggwanga erya Kenya kyokka mu kiseera kino ziweddeko.
Kigambibwa Tanasha abasajja abaali bamukwana nga balina ku ssente kyokka oluvanyuma lw’okuzaalira Platnumz omwana, teri musajja amugambako mu kiseera kino.
Tanasha talina mulimu gumanyiddwa mu kiseera kino wabula alina Kampuni gyayambako okutunda ebintu eby’enjawulo ebyeyambisibwa mu kutangira Kolona.