Omutegesi w’ebivvulu Ssaalongo Andrew Mukasa amanyiddwa nga Bajjo owa Bajjo Events akwattiddwa enkya ya leero, bw’akedde okwekalakasa olw’emmere.

Bajjo akedde kw’offisi ya ssabaminisita mu Kampala ng’ali ne banne babiri  (2) nga bawakanya engeri ensonga y’okuwa abantu emmere abali mu bwetaavu gyekwatiddwamu.
Nga bakutte ebipande, okuwandiikiddwa, “Abantu bagala mmere bafa enjala”, Bajjo abadde akutte kamukalakaasa, agamba nti ensonga bagikutte kasoobo ng’abantu bangi boolekedde okufiira mu nnyumba olw’enjala.

Wabula Poliisi ebakutte era batwaliddwa ku kitebe kya Poliisi mu Kampala ekya CPS.

Bajjo, bw’abadde akwattibwa, omu ku basirikale amukutte empale era kigambibwa emunyize ebitundu by’ekyama kuba alajjanye, “Gundi Onzita” mu ngeri eyeefananyirizaako omuloodi Ssalongo Erias Lukwago bwe yalajjana, Poliisi bwe yali emukwata okuva mu makaage e Wakaliga omwaka oguwedde ng’emutangira okwenyigira mu mbeera eyinza okumenya amateeka.

Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu ggwanga Fred Enanga, n’omutegezi Abbey Musinguzi amanyikiddwa nga Abtex owa Abtex Productions naye akwattiddwa ng’asangiddwa ku Labonita nga yenyigira mu bikolwa eby’okwekalakaasa nga naye atwaliddwa ku CPS mu Kampala.

Enanga agamba nti ebikolwa bya Bajjo ne Abtex okwekalakaasa, mu kiseera kino biyinza okutambuza obulwadde era y’emu ku nsonga lwaki bakwattiddwa.

Kinnajjukirwa nti Bajjo y’omu ku batwala emmere mu National Task Force, nga yawaayo ttani z’akawunga 2, okuyambako ku bantu abali mu bwetaavu.