Poliisi erabudde bannayuganda abalina emputtu, abakyalemeddeko okutambula mu ssaawa za Kafyu ezitandiika ssaawa 1 ey’akawungeezi okutuusa 12 n’ekitundu ez’okumakya okukikomya mbagirawo.

Omukulembeze w’eggwanga, bwe yabadde ayongezaayo omuggalo ennaku 21 ne ssaawa za Kafyu yazongezaayo newankubadde waliwo abakiriziddwa okudda ku mirimu gyabwe omuli aba Takisi, bbaasi , Hotero okuddamu okutambuza emirimu, ssaako n’emmotoka z’obwanannyini okuzikiriza okudda ku makkubo sabiti ajja.

Okusinzira kw’alipoota za Poliisi, bangi ku bantu abakwattiddwa mu ssaawa za Kafyu nga batambula, ekiraga nti bagyemedde ebiragiro ebiteekebwawo.

Kati no, amyuka omwogezi wa Poliisi mu ggwanga Polly Namaye, alabudde nti ku mulundi gunno bayongedde okwetekateeka okukwata buli muntu yenna anaasangibwa ng’atambula mu ssaawa za Kafyu.

Mungeri y’emu Poliisi ekitegeddeko nti waliwo aba bodaboda abalemeddeko okutambuza abantu, ekiyinza okusasaanya obulwadde bwa Kolona.

Namaye agamba nti aba bodaboda, baalagiddwa okusigala ku ddimu ly’okutambuza ebitereke era yenna anaasangibwa ng’asaabaza abantu, tewali kumuttira ku liiso.