Obwakabaka bwa Buganda butongoza Masiki z’Obwakaba n’omulanga, okubirizza abantu ba Ssabasajja okwongera okwekuma Kolona, ayongedde okusanikira ensi yonna.

Masiki ezikoleddwa kuliko eziraga amasaza, ebika n’ebitongole eby’enjawulo ebigwa wansi w’obwakabaka.

Bw’abadde atongoza masiki ezikoleddwa ku Bulange e Mmengo enkya ya leero, Katikkiro wa Buganda munnamateeka Charles Peter Mayiga ajjukiza abantu ba Bbeene  okwongera okwekuuma ‘CoronaVirus’ kubanga, Obuganda okudda ku ntiiko, abantu balina okusigala nga balamu.

Mungeri y’emu akoowodde abantu bonna, okujjumbira okufuna masiki ezikoleddwa ku shs 2.000 okwetangira obulwadde.