Abakulu mu kitongole kya Gavumenti ekivunaanyizibwa okuwandiisa n’okuwa layisinsi ebibiina by’obwanakyewa ekya National Bureau of NGOs, bakawangamudde nti ekibiina ky’omugagga Brian Kirumira amanyikiddwa nga Bryan White ekya Bryan White Foundation, kirudde nga kitambuza emirimu mu ngeri emenya amateeka.
Abakulu bano, balabiseeko mu kakiiko ka Palamenti ak’eddembe ly’obuntu era okusinzira ku ssentebbe w’ekitongole ekyo, Charles Olenyi, Bryan White Foundation yawandisibwa ng’ekibiina ky’obwanakyewa nga 22, Janwali, 2019 nga kikulemberwa Brian Kirumira ne Ssebalu Moses era nga basuubiza okusinzira ku kibiina kyabwe okuyamba abantu n’okusingira ddala abavubuka.
Mungeri y’emu agambye nti Bryan White yalemwa okutuukiriza ebyakanyizibwako n’ebisanyizo era okuva nga 13, November, 2019, ekibiina kibadde kitambuza emirimu gyakyo mu ngeri emenya amateeka.
Eddoboozi lya Charles Olenyi
Ate akulira ekitongole ekyo ekya National Burea of NGOs Okello Stephen agambye nti eby’ogerwa ku Bryan White Foundation nti ssenkulu Bryan White aludde nga yenyigira mu kutulugunya abaana abawala omuli n’okubatikka embutto ne bazigyamu, tebabimanyiiko era tebafunaanga muntu yenna yali addukidde waabwe okubalopera.
Okello agumizza ab’akakiiko nti kati kebategedde nti Bryan White musajja mukyamu nnyo ku nsonga z’omu kisenge, okunoonyereza kutandikiddewo nga bayambibwako ekitongole ekya Poliisi.
Eddoboozi lya Okello Stephen
Ab’ekitongole wadde bewozezaako nti okufuna akasente akatono, y’emu ku nsonga lwaki balemeddwa okutuukiriza obulungi omulimu gwabwe, ogw’okulondoola ebibiina by’obwanakyewa, abakiise ku kakiiko k’eddembe ly’obuntu bagamba nti okunoonyereza kukyagenda mu maaso ku nsonga za Bryan White nga naye balina okumuyita okwewozaako ku by’okukabasanya abawala 3, okubattika embutto n’okubasindikiriza okuzigyamu.