Mu kiseera ng’obutabanguko mu maka bweyongedde mu kiseera kino eky’omuggalo olwa Covid-19, nate Ssenga Kawomera alambuludde ebintu eby’enjawulo ebiyinza okuyambako okunyweza omukwano.
Ssenga Kawomera agamba nti mu laavu, abantu balina okukomya okwefeebya kuba kiyinza okuvaako munno okukwetamwa. Okwefeebya mulimu n’omuntu obutanaaba mbu akooye nnyo.
Mungeri y’emu agamba nti okwesigangana kintu kikulu nnyo mu laavu. Bw’olaga nti munno tomwesiga naye kijja kumubeerera kizibu okukwesiga, so obwesigwa mpagi nkulu mu kutambuza omukwano.
Ssenga Kawomera era agamba nti ebintu ebirala omuli okuwa munno ekitiibwa, okulaga munno nti kikulu mu bulamu bwo, mulina okuba ab’emikwano kugeza mwemanyiize okulaba firimu oba ttivvi mwembi, okugenda mu bivvulu, okusaba kuba byonna biyamba okwongera okwemanya.
Amazima mu laavu kintu kikulu nnyo n’obuyiiya n’okusingira ddala mu nsonga z’omu kisenge kuba kiwa munno essanyu n’obutabowa mu kaboozi.