Ate e Mukono, Poliisi eri mu kunoonya omwana eyasse kitaawe nga kivudde ku butakaanya ku ttaka ku kyalo Galigatya mu ggombolola y’e Kimenyedde.

Omwana Nsubuga Moses yasse kitaawe Lwanga Simon myaka 70 ng’amulanga okutunda ekitundu ku ttaka, naagula pikipiki nga tamwebuzizaako.

Omwana Nsubuga yakutte ekiso nasalako kitaawe obulago era mu kiseera kino aliira ku nsiko.

Wabula omwogezi wa Poliisi mu ggwanga Fred Enanga agambye nti Poliisi ekutte abantu 2 okuli ssemaka Wasanja Ibrahim ne mukyala we Nakanzi Sarah okuyambako mu kunoonyereza.

Enanga awanjagidde abatuuze b’e Galigatya okuyambako Poliisi mu kunoonya Nsubuga ali ku misango gy’okutta Kitaawe.