Kyaddaki eddwaaliro lye Nakasero lifulumizza alipoota ku nfa y’omugenzi MAJ. Gen. Kasirye Ggwanga eyafudde ku lunnaku Olwokubiri nga 9, June, 2020.
Okusinzira kw’alipoota y’abasawo okuva ku ddwaaliro e Nakasero, Kasirye Ggwanga myaka 68, yassizza omukka ogw’enkomerero ku ssaawa 11:30 nga bukya ku Lwokubiri.
Yafudde nga yaakamala mu ddwaaliro ennaku 22 ng’ajjanjabwa endwadde ezimaze ekiseera nga zimutawaanya mu bulamu.
Abasawo bagamba nti obulwadde bw’amawuggwe bwe bwamuviiriddeko okufa, kyokka bwegattiddwaako endwadde endala okuli n’eky’omusuwa gw’oku mutwe okwetugga omusaayi ne gwekwata akatole (Blood clot) era kano ke baasooka okulongoosa, kyokka embeera n’eyongera okubeera embi nga kiva ku mawuggwe okutuusa lwe yafudde.
Maj. Gen. Ggwanga agenda kuziikibwa olunnaku olw’enkya ku Lwokutaano ga 12, June, 2020 mu disitulikiti y’e Mityana.