Mu ggwanga Uganda, wasigadde myezi bannansi okulonda omukulembeze w’eggwanga mu kulonda kwa 2021 wadde waliwo ebigambibwa nti kuyinza okwongezebwayo olwa ‘Coronavirus’, okusobola okutangira abantu okulwala.
Mu kiseera kino waliwo abantu ab’enjawulo abagamba nti beegwanyiza obukulembeze bw’eggwanga okuggya Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni mu buyinza mu kulonda kwa 2021.
Abamu ku bannabyabufuzi abagamba nti betaaga obwa Pulezidenti kuliko munnakisinde kya People Power era omubaka we Kyadondo East mu Palamenti Robert Kyagulanyi Ssentamu amanyikiddwa nga Bobi Wine, Dr Kizza Besigye eyali Pulezidenti wa Forum for Democratic Change (FDC), John Patrick Amama Mbabazi owa Go Forward n’abalala kyokka tekimanyiddwa oba 2021 betegese bulungi okuvuganya Museveni.
Olunnaku olwaleero, tukuleetedde ensonga 5 lwaki Bobi Wine, Besigye ne Mbabazi tewali njawulo era lwaki Museveni 2021 alindiridde kulayira.
1 – Okweyagaliza. Sabiti eno, Bobi Wine yagambye nti alina okuvuganya ku bwa Pulezidenti mu kulonda kwa 2021. Mu Uganda buli muntu alina amaanyi n’abawagizi alowooza agwanidde obwa Pulezidenti, buli omu alowooza yagwanidde era y’emu ku nsonga lwaki Museveni awangula buli kulonda kuba okweyagaliza kusukkiridde mu Uganda. Buli kulonda, Dr. Besigye alina okwesimbawo ne mu kulonda kwa 2016, Mbabazi yagaana okuwagira omuntu yenna ng’alowooza nti ye mutuufu, ekiraga nti Bobi, Besigye ne Mbabazi tewali njawulo.
2 – Obutaagaliza. Buli muntu okulowooza nti yagwanidde, nayo nsonga lwaki buli omu tayagaliza munne kuba buli omu yegwanyiza obuyinza.
3 – Enkwe. Abakulembeze ku ludda oluvuganya abamu balina enkwe era y’emu ku nsonga lwaki balemwa okukaanya ku nsonga zonna omuli n’okuleeta omuntu omu kubwa Pulezidenti.
4 – Embeera mu ggwanga. Embeera eri mu ggwanga ya Corona Virus, era kigenda kuba kizibu nnyo abakulembeze ku ludda oluvuganya okutambula eggwanga lyonna okunoonya akalulu era y’emu ku nsonga lwaki Pulezidenti Museveni alindiridde kulayira ng’omukulembeze w’eggwanga mu kulonda kwa 2021.
5 – Okwegatta. Abakulembeze ku ludda oluvuganya okulemwa okwegatta ly’essanyu lwa Pulezidenti Museveni kuba tewali ayinza kumuwangula ng’ali yekka.