Uganda ewezeza abalwadde ba Covid-19, 686 oluvanyuma lw’okuzuula abantu 7 nga balwadde kw’abo 2, 532 abaakebeddwa olunnaku olw’eggulo.
Ku balwadde 7, 3 baddereeva nga 2 bazuuliddwa ku nsalo y’e Malaba ate 1 ku nsalo y’e Mutukula.
Ate 4 kigambibwa baaliko n’abantu abalwadde nga 2 bazuuliddwa Tororo, 1 Kyotera ate n’omulala yasaangiddwa Gulu.
Ate baddereeva 18 okuli bannansi ba Kenya 8, Tanzania 4, Congo 2, South Sudan 2 ne Eritrea 2, abazuuliddwa nga balwadde, bonna baziddwayo mu nsi zaabwe.
Okusinzira ku Dr. Henry Mwebesa, akulira eby’obujjanjabi mu minisitule y’ebyobulamu, Uganda mu kiseera kino yakasiibula abantu 161 nga bajanjabiddwa Kolona.