Bya Nalule Aminah

Poliisi etandiise okunoonyereza ku mukyala eyattiddwa ku kyalo Lumuli, mu tawuni Kanso y’e Kajjansi mu disitulikiti y’e Wakiso.

Omukyala Nakayenge Prossy myaka 30 yasaangiddwa ng’attiddwa era kiteeberezebwa yattiddwa muganzi we, ategerekeseeko erya Moses.

Omulambo gwa Nakayenge gwasangiddwa mu kazigo ku Lwokusatu nga 10, June, 2020 ng’akawale k’omunda kali wansi ku maviivi, era kiteeberezebwa yasobezeddwako kirindi abasajja basatu (3) nga bakulembeddwamu Moses abadde muganzi we ne mikwano gye Lubega ne Mutoro.

Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu ggwanga Fred Enanga, Nakayenge yabadde akyalidde muganzi we Moses ku Lwokubiri nga 9, June, 2020 kyokka awaka, yasaanze muganzi we aleese mikwano gye (Lubega ne Mutoro) ate nga asula nabo mu kazigo.

Nakayenge yakirizza okusula kyokka kigambibwa ekiro, bamwefuulidde ne bamusobyako kirindi oluvanyuma ne bamutta.

Mu kiseera kino Moses, Lubega ne Mutoro baliira ku nsiko era Poliisi egamba nti okubanoonya kugenda mu maaso.

Eddoboozi lya Enanga