Kyaddaki akakiiko k’ebyokulonda kafulumizza entekateeka empya, ku by’okulonda engeri gy’ebigenda okutambulamu, bannansi okulonda abakulembeze baabwe okuva ku kifo ky’omukulembeze w’eggwanga, abakiise ba Palamenti ssaako n’abakulembeze okudda wansi.

Okusinzira ku ssentebbe w’akakiiko k’ebyokulonda omulamuzi Simon Byabakama, bannansi baakulonda abakulembeze baabwe wakati wa 10, January, 2021 ne 8th February, 2021.

Byabakama agamba nti ku mulundi gunno, teri kuba nkungaana za Kampeyini wabula buli muntu yenna agenda okwesimbawo, alina kweyambisa Ttiivi, Laadiyo n’emikutu migatta bantu omuli Face Book, okunoonya akalulu.

Abegwanyiza obukulembeze bw’eggwanga, bakuwandisibwa okuva nga 2 okutuusa nga 3, November, 2020 ate obukiise bwa Palamenti okuva nga 12 okutuusa 14, October, 2020.

Ebibiina biwereddwa okuva nga 22, omwezi guno Ogwomukaaga, okutuusa nga 21, omwezi ogujja Ogwomusanvu, 2020 okulonda abakulembeze abalina okubakwatira bendera nga buli muntu yenna alina okutwala mu kakiiko k’ebyokulonda ebiwandiiko bye, ebiraga obuyigirize obutasukka nga 1, September, 2020.

Byabakama era asuubiza okutegeeza eggwanga olunnaku olutuufu, lwe balina okulonda omukulembeze w’eggwanga n’abakiise ba Palamenti.

Ku nsonga y’okuwera okukuba enkungaana, Omulamuzi omutendeke Byabakama agambye nti kikoleddwa okutangira abantu, okungaana, ekiyinza okutambuza Kolona.

Mu ntekateeka efulumiziddwa, abakozi ba Gavumenti bonna abesuunga okwesimbawo okukiika mu Palamenti balina okulekulira obutasukka nga 12, Ogwomusanvu, 2020