Abatuuze b’e Bwaise II, Kawempe balabye katemba omusajja bwakubye omulanga wakati mu kaboozi, ekitabudde abantu ssaako n’okuteekawo okutya.

Omusajja ategerekeseeko erya Isma akubye omulanga ng’ali mu nnyumba nga bw’asaba abantu okumuyamba.

Akawungeezi ka leero ku ssaawa 12, Isma akomyewo awaka n’omukyala ne bayingira mu nnyumba. Abatuuze bagamba nti ku ssaawa 1 ey’ekiro, Isma akubye omulanga era webatuukidde mu nnyumba ng’ali ku buliri, amaziga gamuyitamu.

Isma abadde ali bwereere era wakati mu kuswala agambye nti abadde agezaako kusinzira ku kitanda okutuusa omukyala ku ntikko, enkizi ne zikutuka.
Ate omukyala abadde asobeddwa agambye nti ye Ritah era mu kwewozaako agambye nti Isma yamusuubiza shs 10,000 okumuguza akaboozi era abadde asemberedde okumalayo ssente ze.

Isma ayambiddwako abatuuze okumutwala mu Kiliniki eri okumpi ku kitundu ate omukyala avuddewo nageenda wakati mu kuswala.