Uganda, ewezeza abalwadde ba Covid-19 732 oluvanyuma lw’okuzuula abantu 8 abalwadde kw’abo 2,526 abaakebeddwa olunnaku olw’eggulo.

Ku 8, abazuuliddwa nga balwadde, 2 baddereeva okuva mu ggwanga erya Kenya ku nsalo ye Malaba, 1 ‘Turnboy’ ssaako n’omukozi akirizza ebintu okutambuzibwa ku nsalo y’e Elegu.

Ate 4 kigambibwa baaliko n’abantu abalwadde nga 2 baasangiddwa mu Kampala nga bagiddwa mu Kalantini, 1 omutuuze we Moyo ate omulala omu (1) yakwatibwa bwe yali avudde mu ggwanga erya DR Congo nga mu Uganda okuyingira, yayita ku panya.

Ate baddereeva 16 abazuuliddwa nga balwadde okuli bannansi ba Kenya 11, Tanzania 3, Congo 1 ne South Sudan 1 bonna baziddwayo mu nsi zaabwe.

Okusinzira ku Dr. Henry Mwebesa, akulira eby’obujjanjabi mu minisitule y’ebyobulamu, Uganda mu kiseera kino yakasiibula abantu 409 nga bajanjabiddwa Kolona, webukeeredde enkya ya leero.