Poliisi y’e Kabale ekutte omusajja myaka 23 ku by’okusobya ku mwana omuto.

Omusajja Munanura Onesmus asangiddwa lubuno mu Highland hotel mu kibuga kye Kabale ng’ali mu kaboozi n’omwana ali mu gy’obukulu 16 era kigambibwa abadde abeera naye okuva ku Ssande.

Onesmus kigambibwa munnamaggye ali ku ddaala lya Private nga mutuuze ku kyalo Kakatunda mu Tawuni Kanso y’e Muhanga mu disitulikiti y’e Rukiga.

Ate omwana omuwala yadduka mu bazadde be akawungeezi k’olunnaku olwa Ssande ku kyalo Kiyora mu ggombolola y’e Kitumba mu disitulikiti y’e Kabale era abadde anoonyezebwa kwekusangibwa mu Loogi n’omusajja nga yenna abugaanye essanyu lya kaboozi.

Elly Maate, omwogezi wa Poliisi mu bitundu bye Kigezi agambye nti omusajja akwattiddwa ku musango gw’okujjula ebitanajja era okunoonyereza kutandikiddewo.