Avunaanyizibwa ku nsonga z’ebyobufuzi mu kitongole kya Poliisi Afande Asan Kasingye atabukidde mu kakiiko ka Palamenti ak’eddembe ly’obuntu, nga kivudde ku bakakiiko okumukanda okwanukula ezimu ku nsonga ku by’omugagga Brian Kirumira amanyiddwanga Bryan White.

Abakakiiko, batabukidde Kasingye okwanukula lwaki Bryan White akuumibwa Poliisi n’ebitongole byokwerinda ebirala ng’akirako omuntu omukulu mu ggwanga, natuuka n’okuzza emisango omuli okusobya ku baana abawala, okubatulugunya n’okubagyamu embutto.

Abawala abalumiriza Bryan White okubakolako ebikolobero okuli Stella Nandawula, Vivian Mutanda, Leticia Nabulime n’abalala nga bagamba nti buli Poliisi eremeddwa okubayamba kuba mikwano gya Bryan White ate nga bamutya.

Ebigambo ebyo, bitabudde Afande Kasingye kwekutegeeza nti abasirikale abakuuma Bryan White bakola mu maka g’obwa Pulezidenti nga tewali nsonga yonna lwaki balina okumusongamu olunwe.

Wabula omwogezi w’ekitongole kya poliisi ekinoonyereza ku buzzi bw’emisango, Charles Twine agambye nti ensonga za Bryan White bakyazinoonyerezaako.

Wabula amyuka ssentebbe w’akakiiko, Taaka Agnes agamba nti balina okuwa omukisa enjuyi zonna okwewozaako.

Bryan White ayogerwako asuubirwa lunaku lwa nkya ku Lwokuna mu kakiiko akalondoola eddembe ly’obuntu naye okwewozaako.

Eddoboozi lya Kasingye