Omuloodi wa Kampala Ssalongo Erias Lukwago agobye Sarah Kanyike abadde omumyuka we ku bwa Loodi Meeya bwa Kampala.
Lukwago amangu ddala alonze Kansala we Makerere mu lukiiko lwa KCCA, Doreen Nyanjura okudda mu bigere bya Sarah Kanyike.
Kinnajjukirwa nti sabiti ewedde Omukulembeze w’eggwanga yalonze Sarah Kanyike nga Direkita w’ekikula ky’abantu mu kitongole kya KCCA newankubadde tannaba kusunsulwamu.

Kanyike ye Kansala omukyala akikirira abantu b’e Makindye East mu lukiiko lwa KCCA era yalondebwa okumyuka Loodi meeya mu 2016.
Yalekulidde oluvanyuma lw’okulondebwa kwekutegeeza nti anyuse ebyobufuzi.
Lukwago, bw’abadde alangirira Nyanjura ku City Hall mu Kampala, agambye nti yakirizza okusaba kwe newankubadde yabadde amusabye okugaana ekifo ekyamuwereddwa.
Lukwago mu ngeri y’emu alonze Kansala wa Kampala central Moses Kataabu okudda mu kifo kya Nyanjura ng’omuwandiisi omukulu mu KCCA ku nsonga z’ebyensimbi.
Nyanjura ne Kataabu basuubirwa sabiti ejja ku Mmande nga 22, omwezi guno Ogwomukaaga mu lukiiko lwa KCCA okusunsulwamu.