Omuyimbi Rema Namakula agamba nti mu bulamu, ayagala nnyo okulya kye bayita ‘omuceere’ kuba guwooma nnyo.
Rema bw’abadde awayamu n’omukozi ku 100.2 Galaxy FM mu pulogulamu ya Morning Saga, Mariat Candy Nasasira agambye nti omuceere ye mmere yokka esobola okumuwa essanyu n’okuwomerwa okulya emmere.
Agamba nti mu bulamu bwe, singa afuna omuntu gw’ayagala ku mutima, amufumbira ‘Piraawo’ kuba ye mmere gy’asinga okufumba obulungi.

Ebigambo bya Rema biraga nti Kenzo agenda kusubwa Piraawo gw’abadde amufumbira wakati mu laavu kyokka Dr Hamza ali mu kwesuunga Rema mu kiseera kino.