Omusajja Sharif Ssentongo Nambale aggyeeyo okusaba kwe yali yatwala mu kakiiko akalungamya abasawo mu ggwanga aka Allied Health Proffesional Council okubonereza bba wa Rema Namakula omuggya Dr. Hamza Ssebunya.

Ssentongo ng’ayita mu munnamateeka we Erias Nalukoola yawandiikira akakiiko ng’ayagala Dr. Ssebunya okumunoonyerezako ku bigambibwa nti yaganza omulwadde we (Rema) ekikontana n’amateeka agafuga abasawo mu ggwanga.

Okusinzira ku mateeka agafuga abasawo mu ggwanga, omusawo yenna takkirizibwa kukozesa mulimu gwe kuganza mulwadde yenna.

Kinnajjukirwa nti sabiti ewedde, munnamateeka wa Dr. Ssebunya, Ukasha Ssekajja yategeeza nti tewali bukakafu bulaga nti omuntu we (Ssebunya) yali abaddeko omusawo wa Rema.

Ku nsonga eyo, munnamateeka wa Ssentongo, Nalukoola agambye nti bazzeemu okuwandiikira akakiiko (Allied Health Proffesional Council) okuggyayo ebbaluwa kuba omuntu we kye yali anoonya okumanya yakifunye bulungi nnyo.

Abamu ku bannayuganda baali balowooza nti ebbaluwa ya Ssentongo yalimu omukono gwa Eddy Kenzo okugezaako okugotaanya emikolo gya Rema okwanjula bba Dr. Ssebunya mu bazadde nga 14, November, 2019 e Nabbingo ku lwa Masaka.

Wabula kigambibwa Ssentongo oluvanyuma yeetondera Dr. Ssebunya olw’obutasooka kunoonyereza ku nsonga eyo nga tanaba kuwandiikira kakiiko.