Ssenga Justine Nantume asekeredde bannayuganda abalowooza nti omuyimbi Rema Namakula yetaaga okubulirirwa okwenjawulo okwetekeratekera obufumbo.

Olunnaku olwaleero, Rema agenda kwanjula bba Dr. Hamzah Ssebunya mu bazadde e Nabbingo ku lwe Masaka.

Wabula Ssenga Nantume agamba nti Rema abadde mu bufumbo bwa Eddy Kenzo emyaka egisukka 5 era ategeera bulungi nnyo webakwaata omusajja n’ensonga z’amaka era talina kutya kwonna mu bufumbo bwa Hamzah kuba ebisiinga abimanyi.

Agamba nti Dr. Ssebunya afunye omukyala omutuufu kuba Rema ategeera bulungi nnyo ensonga z’amaka ate mukyala atuukiridde kuba yakola bulungi nnyo emikolo gya Ssenga mu buwala bwe.


READ  Kenzo Weyayu? Rema's Message To Hubby Hamza Sebunya Leaves Fans Talking At Her Concert