Mu nsi y’okunoonya laavu, buli muntu yenna alina okukola ebintu eby’enjawulo okusikiriza omuntu gw’oyagala okusaba omukwano.
Mu mbeera eyo, bangi ku bannayuganda bagamba nti omuyimbi Lydia Jazmine ali mu laavu ne Eddy Kenzo wadde tewaaliwo bukakafu.
Wabula Jazmine mu ngeri y’okulaga obulungi bw’omubiri gwe, alina obugoye bw’ayambala ennaku zino okutengula emitima gy’abasajja ab’enjawulo omuli ne Kenzo, ekiraga nti amaliridde okusigula abasajja mu ngeri zonna.
Mu kiseera kino mukyala wa Kenzo, Rema Namakula kirabika asobeddwa kuba ye tasobola kwambala ngoye eziraga ebithambi lwa musajja wadde kukyamula bawagizi be.