Gavumenti efulumizza pulogulaamu y’okuziika Polof Apolo Robin Nsibambi sabiti ejja ku Lwokubiri.

Okusinzira ku ntekateeka eyalangiriddwa Ssaabaminisita wa Uganda, Dr. Ruhakana Rugunda, olunnaku olw’enkya ku Lwokutaano, ku ssaawa 7:00, omulambo gwa Polof Nsibambi gugenda kuggyibwa gye gukuumirwa mu maka ga A Plus Funeral Management gutwalibwe ku Palamenti okusiima emirimu gye yakolera eggwanga lino Uganda.

Ate ku Lwomukaaga nga 1, June, 2019 ne ku Ssande nga 2, June, 2019 wabeerewo okusaba mu maka g’omugenzi e Bulange mu Divizoni y’e Rubaga okutandika n’essaawa 12:00 ez’olw’eggulo.

Ku Lwokubiri nga 4, June, 2019, okusabira omwoyo gw’omugenzi mu Lutikko e Namirembe n’oluvannyuma Polof Apolo Robin Nsibambi aziikibwe ku ssaawa 10 ez’olweggulo.