Mu Uganda, Bebe Cool y’omu ku bayimbi abawagizi b’ekibiina kya National Resistance Movement (NRM) ne Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni kyokka talina kifo kyonna mu gavumenti.

Bangi ku bannayuganda balina endowooza nti Pulezidenti Museveni ayinza okuwa Bebe Cool obwa Minisita oba ekifo kyonna mu Gavumenti kuba asobola bulungi nnyo okwogera Oluzungu ate musajja alaga obwagazi bw’ekibiina.

Wabula omuyimbi Khalifa Aganaga awadde ezimu ku nsonga lwaki Pulezidenti Museveni alemeddwa okuwa Bebe Cool obwa Minisita wadde ekifo kyonna mu Gavumenti ye.
Aganaga agamba nti Bebe Cool obutasoma y’emu ku nsonga lwaki alina ennugu kuba tewali kifo kya bukulembeze kyasobola kwesimbawo wadde okuweebwa.
Mungeri y’emu agambye nti Bebe Cool obutasoma y’emu ku nsonga lwaki ne Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni akyalemeddwa okufuna ekifo mwamuteeka kuba talina buyigirize.

Eddoboozi lya Aganaga